2 Kings 13:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yowasi mutabani wa Yowakazi n'akwata ebibuga ku Beni-Adadi mutabani wa Kazayeli, bye yali awambye ku kitaawe lwe yamutabaala. Yowasi yamuwangula emirundi esatu n'anunulayo ebibuga bya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’awamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye n’amuwangula emirundi esatu, era n’akomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yekoyaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaasi mutabani wa Yehoyahaazi n'awangula Benihadadi emirundi esatu, n'amuggyako ebibuga bya Yisirayeli, Benihadadi oyo bye yali awambye ng'alwanyisa Yehoyahaazi kitaawe wa Yehowaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yowaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.