2 Kings 13:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gya Kazayeli, kabaka wa Aramu ne mu mikono gya Beni-Adadi mutabani wa Kazayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'abagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Hazayeeli kabaka wa Siriya, ne mutabani we Benihadadi okubawangulanga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'ebagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.