2 Kings 13:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowakazi n'awanjagira Omukama abasaasire, Omukama n'amuwulira, kubanga yalaba engeri kabaka wa Aramu gye yali anyigirizaamu Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyakaazi n'eyegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehoyahaazi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira, kubanga yalaba kabaka wa Siriya bw'ayisa obubi Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyakaazi n'amwegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga.