2 Kings 13:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awa Yisirayeli omununuzi, ne bawona effugabbi lya Aramu, abantu ba Yisirayeli ne baddamu okusula mu weema zaabwe nga bwe baakolanga mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abaddiramu n’abawa omulokozi, ne bawona obufuzi bw’Abasuuli, n’oluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'awa Abaisiraeri omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abasuuli. Abaisiraeri ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'awa Abayisirayeli omununuzi, ne baggyibwa mu bufuzi bw'Abassiriya. Abayisirayeli ne babeera mu ddembe nga bwe baabanga edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Awo Mukama n'awa Isiraeri omulokozi n'okuva ne bava wansi w'omukono gw'Abasuuli: abaana ba Isiraeri ne babeera mu weema zaabwe ng'olubereberye.