2 Kings 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era tebaava mu bibi bya nnyumba ya Yerobowamu bye yaleetera Yisirayeli okugwamu; baabyongera mu maaso; anti n'empagi ya Asera yasigala yeesimbye mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne batalekaayo kukola ebibi eby’ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. N’empagi ey’Asera n’esigalayo mu Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu ebyaleetera Isiraeri okwonoona, naye ne batambulira omwo: ne Asera n'asigala mu Samaliya nga asinzibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne batava mu bibi ab'ennyumba ya Yerobowaamu bye baabaleetera okukola ne bongera okubikolanga, n'ekifaananyi kya Asera lubaale omukazi ne kisigala mu Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri, naye ne batambulira omwo: ne Baasera ne basigala mu Samaliya.)