2 Kings 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowakazi yasigala kumpi talina ggye, wabula ng'alinawo abeebagazi amakumi ataano, ebigaali kkumi n'abatabaazi ab'ebigere omutwalo gumu; kabaka wa Aramu yali abasse, ng'abasedde ng'enfuufu y'omu gguuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja ataano (50) abeebagala embalaasi, amagaali kkumi (10), n'abasserikale omutwalo gumu (10,000) abatambula ku bigere, kubanga kabaka w'e Busuuli yali azikiriza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyahaazi n'atasigazaawo ggye okuggyako abasajja amakumi ataano abeebagala embalaasi, amagaali kkumi, n'abaserikale omutwalo gumu abatambula ku bigere, kubanga kabaka wa Siriya yali azikirizza abalala bonna, n'abalinnyirira ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga teyalekera Yekoyakaazi ku bantu wabula abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano n'amagaali kkumi n'abatambula n'ebigere kakumi; kubanga kabaka w'e Busuuli yabazikiriza, n'abafuula ng'enfuufu ey'omu gguuliro.