2 Kings 13:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowakazi n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Samariya; Yowasi mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyakaazi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we n’amusikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yekoyaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehoyahaazi n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samariya, mutabani we Yehowaasi n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yowaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye.