2 Kings 14:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Yowasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Yisirayeli, Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda n'afuuka kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Yowaasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Yuda n’alya obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri, Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokubiri nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi ye kabaka wa Yisirayeli, Amaziya mutabani wa Yowaasi n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yowaasi mutabani wa Yowakaazi kabaka wa Isiraeri Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'atanula okufuga.