2 Kings 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu wawangula Edomu, omutima gwo kwe kwetumbula. Weetende, naye weesigalire mu nnyumba yo. Lwaki weewakulira emitawaana, ogwe ne Yuda naye agwe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano wegulumizza kubanga owangudde Edomu. Wenyumirize mu buwanguzi bwo ewuwo. Lwaki oyagala okweleetera emitawaana, n’okugwa kwo era n’okwa Yuda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Yuda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kituufu owangudde Edomu, ekyo ne kikuleetera okwegulumiza. Kale beera ewuwo okyenyumiririzeemu. Lwaki weetakulira emitawaana egy'okukuzikiriza ggwe ne Buyudaaya yonna?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima okubye Edomu, n'omutima gwo gukugulumizizza okyenyumiririzeemu obeere eka; kubanga lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa ggwe ne Yuda wamu naawe?