2 Kings 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Amaziya teyawuliriza, bw'atyo Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'akola olulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Beti-Semesi ekya Yuda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Amaziya teyawuliriza, era ekyavaamu Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’amulumba. Ne balabagana amaaso n’amaaso mu lutalo e Besusemesi ekya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Amaziya n'agaana okuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'alumba Amaziya kabaka wa Yuda ne bambalaganira e Besusemesi ekya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Amaziya n'agaana okuwuliriza. Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'avaayo okulumba. Ye ne Amaziya kabaka wa Buyudaaya ne boolekaganyiza obwanga e Betisemesi ekya Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira. Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.