2 Kings 14:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowasi, mutabani wa Akaziya, e Beti-Semesi, n'amuleeta mu Yeruzaalemu. N'amenya bbugwe wa Yeruzaalemu okuva ku Mulyango Efurayimu okutuuka ku Mulyango gw'Ensonda, obuwanvu bwa mikono ebikumi bina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya e Besusemesi; Yekoyaasi ne yeeyongerayo e Yerusaalemi, n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, obuwanvu mita kikumi mu kinaana, okuva ku wankaaki wa Efulayimu okutuuka ku wankaaki ow’oku Nsonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira e Besusemesi Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi muzzukulu wa Akaziya. Yekoyaasi n'agenda e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wakyo, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, bwe buwanvu bwe mikono bina (400).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'awamba kabaka wa Buyudaaya, Amaziya mutabani wa Yowaasi era muzzukulu wa Ahaaziya. Yamuwambira Betisemesi, n'amuleeta e Yerusaalemu. Yehowaasi n'amenyaamenya ekigo kya Yerusaalemu, okuva ku Mulyango gwa Efurayimu, okutuuka ku Mulyango ogw'oku Nsonda, bwe buwanvu bwa mita nga kikumi mu kinaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yekoyaasi mutabani wa Akaziya e Besusemesi, n'ajja e Yerusaalemi n'amenyamenya bbugwe wa Yerusaalemi, okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.