2 Kings 14:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yowasi, bye yakola, obuzira bwe, n'eby'olutalo lwe ne Amaziya kabaka wa Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala byonna ebyaliwo mu mirembe gya Yekoyaasi, ne bye yakola n’ebyamagero bye, ne bwe yatabaala Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yehowaasi bye yakola, omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, ne bwe yalwanyisa Amaziya kabaka wa Buyudaaya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyaasi bye yakola n'amaanyi ge era bwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?