2 Kings 14:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi n'agalamira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samariya awamu ne bakabaka ba Yisirayeli, Yerobowamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yekoyaasi n’afa n’aziikibwa mu Samaliya mu masiro ga bakabaka ba Isirayiri. Mutabani we Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu Samaliya awali bassekabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yehowaasi n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa e Samariya mu masiro ga bassekabaka ba Yisirayeli. Mutabani we Yerobowaamu n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yekoyaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bakabaka ba Isiraeri; Yerobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.