2 Kings 14:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi mutabani wa Yowakazi kabaka wa Yisirayeli bwe yamala okufa, Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda yawangaalayo emyaka kkumi n'etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi n’awangaala emyaka kkumi n’ettaano emirala oluvannyuma lw’okufa kwa Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaala emyaka kkumi n'etaano (15) Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya mutabani wa Yowaasi era kabaka wa Buyudaaya yawangaala emyaka kkumi n'etaano nga Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era kabaka wa Yisirayeli amaze okukisa omukono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'amala emyaka kkumi n'etaano Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okufa.