2 Kings 14:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Amaziya byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala eby’omulembe gwa Amaziya, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Amaziya bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya basse kabaka ba Yuda?