2 Kings 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
We yafuukira kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu etaano; yafugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yowaddini, ng'asibuka Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali aweza emyaka amakumi abiri mu etaano weyatandikira okufuga, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye ye yali Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali awezza emyaka abiri mu etaano (25) we yatandikira okufuga; n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi: ne nnyina nga ye Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yehoyaddini ow'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yakamaze emyaka makumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoyadiini ow'e Yerusaalemi.