2 Kings 14:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna aba Yuda ne baddira Azariya, eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamussa ku nnamulondo, asikire Amaziya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eggwanga lyonna erya Yuda, ne bafuula Azaliya ow’emyaka ekkumi n’omukaaga kabaka, ng’asikira kitaawe Amaziya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali awezzezza emyaka kkumi na mukaaga (16), ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ab'omu Buyudaaya ne balonda Azariya eyali ow'emyaka ekkumi n'omukaaga, ne bamufuula kabaka okusikira Amaziya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna aba Yuda ne batwala Azaliya eyali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga, ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.