2 Kings 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Amaziya mutabani wa Yowasi kabaka wa Yuda, Yerobowamu mutabani wa Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'afuuka kabaka mu Samariya; yafugira emyaka amakumi ana mu gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu II mutabani wa Yowaasi ssekabaka wa Isirayiri n’afuuka kabaka mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi ana mu gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano (15) ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yekoyaasi ssekabaka wa Isiraeri n'atandika okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka ana mu gumu (41).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano nga Amaziya mutabani wa Yowaasi ye kabaka wa Buyudaaya, Yerobowaamu mutabani wa Yehowaasi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi ana mu gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atanula okufuga mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi ana mu gumu.