2 Kings 14:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; teyava ku bibi byonna ebya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atakyuka okuva mu bibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yakola ebyaleetera Isiraeri okwonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi: teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri.