2 Kings 14:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye yazzaawo ensalo za Yisirayeli okuva ku Lebo-Kamati okutuuka ku nnyanja ya Araba ng'Omukama Katonda wa Yisirayeli bwe yali ayogedde ng'ayita mu muweereza we Yona omulanzi mutabani w'Amittayi eyali asibuka e Gati-Keferi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yatuukiriza ekigambo kya Mukama, Katonda wa Isirayiri kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow’e Gasukeferi, n’azzaawo ensalo ya Isirayiri okuva ku mulyango gwa Kamasi okutuuka ku Nnyanja ey’Omunnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo kya Mukama Katonda wa Isiraeri bwe kyali kye yayogerera mu muddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yawangula n'azzaayo ensalo ya Yisirayeli okuva Awayingirirwa mu Hamati okutuuka ku Nnyanja Enfu, nga Mukama Katonda wa Yisirayeli bwe yagamba ng'ayita mu muweereza we, Omulanzi Yona mutabani wa Amittayi, ow'e Gaati Heferi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yazzaayo ensalo ya Isiraeri okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku nnyanja eya Alaba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama Katonda wa Isiraeri kye yayogerera mu mukono gw'omuddu we Yona mutabani wa Amitayi nnabbi ow'e Gasukeferi.