2 Kings 14:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yalaba nga buli omu mu Yisirayeli, omuddu n'omwana ow'eddembe, ng'adooba nnyo, sso nga tewali ayamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yalaba okubonaabona kwa buli omu mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu, nga tewali ayinza ku babeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alaba okubonyaabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kunene nnyo: nga tewali n'omu wakubayamba wadde omuddu oba ow'eddembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'alaba ng'Abayisirayeli babonaabona nnyo, era nga tewali n'omu wa kubayamba wadde omuto oba omukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama n'alaba okubonyabonyezebwa kwa Isiraeri, nga kuzibu nnyo: kubanga tewaali eyasibibwa newakubadde ataasibibwa, wadde omubeezi eri Isiraeri.