2 Kings 14:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yerobowamu na byonna bye yakola, n'obuzira bwe mu kutabaala, nga bwe yalwana okuzza ku Yuda ne Yisirayeli Damasiko ne Kamati ebyalinga ebya Yuda, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yerobowaamu II, ne byonna bye yakola, ne bwe yalwana entalo n’obuzira, n’engeri gye yakomezaawo Isirayiri Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'obuzira bwe yalwana nakomezaawo Isiraeri ebibuga Ddamasiko ne Kamasi ebyali ebya Yuda, byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Yerobowaamu bye yakola, n'entalo ze ez'obuzira mwe yakomerezaawo Yisirayeli ebibuga Damasiko ne Hamati ebyali ebya Buyudaaya, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yerobowaamu ne byonna bye yakola n'amaanyi ge bwe yalwana ne bwe yakomezaawo Isiraeri Ddamasiko ne Kamasi ebyabanga ebya Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?