2 Kings 14:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, naye si nga kitaawe Dawudi. Ku buli kintu yakola nga kitaawe Yowasi bwe yali akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, newaakubadde nga tebyenkana bya jjajjaawe Dawudi bye yakola. Mu buli nsonga yonna yagobereranga ekyokulabirako kya Yowaasi kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye n'atenkana Dawudi jjajjaawe: yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya n'akola ebyo ebisiimibwa Mukama. Kyokka yali teyenkana Dawudi jjajjaawe. Yakola ng'ebyo byonna Yowaasi kitaawe bye yakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, naye nga tamwenkana Dawudi kitaawe bye yakola nga byonna bwe byali Yowaasi kitaawe bye yakolanga.