2 Kings 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo; abantu baali bakyatambira n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka beeyongeranga okuweerayo ssaddaaka n’okwoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu kubanga byali tebiggyiddwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongeranga okuwaayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu, teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyawaayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.