2 Kings 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka bwe bwamala okunywera mu mikono gye, n'atta mu bakungu be abo abaali basse kabaka kitaawe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yalaba ng’obwakabaka bunywezeddwa mu buyinza bwe, n’atta abakungu abaatemula kabaka kitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Amaziya nga kyajje amale okwenyweza ku bwakabaka, n'alyoka atta abaddu be abatta Yowaasi kitaawe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya bwe yamala okwenyweza ku bwakabaka, n'atta abaweereza be abatta kitaawe, Ssekabaka Yowaasi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka obwakabaka nga kye bujje bunywezebwe mu mukono gwe n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe: