2 Kings 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka batabani b'abatemu teyabatta, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'Etteeka lya Musa, Omukama w'aweerera ekiragiro nti: “Bakitaabwe ba baana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula teyatta batabani baabwe kubanga mu byawandiikibwa mu Kitabo eky’Amateeka ga Musa, Mukama yalagira nti, “Abazadde tebattibwenga ku lw’abaana, so n’abaana tebattibwenga ku lw’abazadde baabwe; buli muntu anaafanga olw’ebibi bye ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye abaana b'abassi teyabatta: nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa: nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka n'atatta baana baabwe, wabula n'agoberera ekyo ekyawandiikibwa mu Kitabo eky'Amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira nti: “Abazadde tebattibwenga lwa misango gya baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango bazadde baabwe gye bazza. Omuntu anattibwanga lwa musango ye yennyini gwe yazza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye abaana b'abassi teyabatta: ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, nga Mukama bwe yalagira ng'ayogera nti Bakitaabwe tebattibwanga ku lw'abaana, so n'abaana tebattibwanga ku lwa bakitaabwe; naye buli muntu anaafanga olw'okwonoona kwe ye.