2 Kings 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye yakuba Abeedomu omutwalo gumu mu Kiwonvu ky'Omunnyo, n'awamba Sera mu lutalo olwo, n'akituuma Yokuteeli n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yawangula ab’e Edomu mu Kiwonvu eky’Omunnyo, era n’atta omutwalo gumu ku bo, n’okuwamba n’awamba Seera mu lutalo, n’akituuma Yokuseeri, era kye kikyayitibwa ne ku lunaku lwa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaziya n'attira mu Kiwonvu eky'Omunnyo abasserikale Abaedomu omutwalo gumu (10,000), n'awamba ekibuga Seera mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuseeri, lye kikyayitibwa ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaziya n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo abaserikale Abeedomu omutwalo gumu, n'awamba ekibuga Sela mu lutalo, n'akituuma erinnya Yokuteeli, lye kikyayitibwa ne leero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Edomu n'attirako kakumi mu Kiwonvu eky'Omunnyo, n'amenya Seera ng'alwana, n'akituuma erinnya lyakyo Yokuseeri ne leero.