2 Kings 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Amaziya n'atuma ababaka ewa Yowasi mutabani wa Yowakazi, mutabani wa Yewu kabaka wa Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu tugasimbagane.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biro ebyo Amaziya n’atumira Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi, muzzukulu wa Yeeku, kabaka wa Isirayiri, obubaka ng’amusosonkereza nti, “Jjangu tulabagane amaaso n’amaaso.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi muzzukulu wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu twambalagane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Kabaka Yehowaasi mutabani wa Yehoyahaazi era muzzukulu wa Yeehu, bassekabaka ba Yisirayeli, ng'agamba nti: “Jjangu twolekaganye obwanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Amaziya n'atuma ababaka eri Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri: ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.