2 Kings 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowasi kabaka wa Yisirayeli n'atuma ewa Amaziya kabaka wa Yuda ng'agamba nti: “Ettovu ly'oku Lebanoni lyatuma eri entolookyo y'oku Lebanoni ne ligamba nti: ‘Muwala wo muwe mutabani wange abeere mukazi we.’ Ne wabaawo ekisolo eky'ettale ekyayitawo ne kirinnyirira ettovu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yekoyaasi kabaka wa Isirayiri n’addamu Amaziya kabaka wa Yuda nti, “Omwennyango mu Lebanooni gw’aweereza obubaka eri omuvule mu Lebanooni nga gugamba nti, ‘Waayo muwala wo afumbirwe mutabani wange.’ Naye ensolo enkambwe eya Lebanooni bwe yali ng’eyitawo n’erinnyirira omwennyango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwala wo muwe mutabani wange amuwase: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango ogwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yehowaasi kabaka wa Yisirayeli n'atumira Amaziya kabaka wa Buyudaaya ng'agamba nti: “Omwennyango ogwali ku lusozi Lebanooni gwatumira omuvule era ogwali ku Lebanooni, nga gugamba nti: ‘Mutabani wange muwe muwala wo amuwase.’ Ensolo ey'omu ttale ey'oku Lebanooni bwe yali eyitawo, n'erinnyirira omwennyango ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogw'ali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Muwe muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.