2 Kings 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu ogwa Yerobowamu kabaka wa Yisirayeli, Azariya mutabani wa Amaziya, kabaka wa Yuda, n'afuuka kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu kabaka wa Isirayiri, Azaliya mutabani wa ssekabaka Amaziya n’alya obwakabaka bwa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'abiri mu omusanvu (27) ogwa Yerobowaamu Owokubiri kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n'atandika okufuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Yerobowaamu Owookubiri ye kabaka wa Yisirayeli, Azariya mutabani wa Amaziya n'afuuka kabaka wa Buyudaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri Azaliya mutabani wa Amaziya kabaka wa Yuda n’atanula okufuga.