2 Kings 15:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo ekigambo ky'Omukama ne kituukirira kye yagamba Yewu nti: “Abaana bo bajja kutuula ku nnamulondo ya Yisirayeli okutuusa ku zzadde eryokuna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku ne kituukirira, era kyali kigamba nti, “Bazzukulu bo balirya obwakabaka bwa Isirayiri okutuusa ku muzzukulu owookuna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo Mukama kye yagamba Yeeku nti Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka mu Isiraeri okutuuka ku mulembe ogwokuna, bwe kityo ne kituukirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo Mukama kye yagamba Yeehu nti: “Ab'ezzadde lyo balibeera bakabaka ba Yisirayeli okutuuka ku zzadde eryokuna,” bwe kityo ne kituukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo kye kyali ekigambo kya Mukama kye yagamba Yeeku nti Batabani bo balituusa emirembe egy'okuna okutuula ku ntebe ya Isiraeri. Era ne kituukirira bwe kityo.