2 Kings 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sallumu mutabani wa Yabesi yafuuka kabaka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogwa Wuzziya kabaka wa Yuda; yafugira omwezi gumu mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n’atandika okufuga mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Uzziya kabaka wa Yuda, era n’afugira omwezi gumu mu Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atandika okufuga mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga lya mwezi gumu mu Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Sallumu mutabani wa Yabesi n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya omwezi gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sallumu mutabani wa Yabesi n'atanula okufuga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Uzziya kabaka wa Yuda; n'afugira ebbanga ery'omwezi mu Samaliya.