2 Kings 15:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Menakemu mutabani wa Gaadi yava e Tiruza n'agenda e Samariya n'alumba Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samariya n'amutta, n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Menakemu mutabani wa Gaadi n’ava e Tiruza n’agenda okulumba Sallumu mutabani wa Yabesi e Samaliya, era n’amutta. Ye n’afuuka kabaka mu kifo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya, n'afumita Sallumu mutabani wa Yabesi n'amutta, n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Menahemu mutabani wa Gaadi, n'ava e Tiruza n'ajja e Samariya, n'atta Sallumu, n'afuga mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Menakemu mutabani wa Gaadi n'ayambuka ng'ava e Tiruza n'ajja e Samaliya n'afumitira Sallumu mutabani wa Yabesi mu Samaliya, n'amutta n'afuga mu kifo kye.