2 Kings 15:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Menakemu yava e Tiruza n'alumba Tifusa, na bonna abaakirimu n'ebitundu byakyo byonna ebikyetoolodde, kubanga baagaana okumuggulirawo emiryango gy'ekibuga. Abakazi bonna abaali embuto abaalimu n'ababaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Menakemu n’alumba Tifusa n’azikiriza buli muntu eyalimu, na buli kintu ekyali kikirinaanye ng’atandikira ku nsalo yaakyo ne Tiruza, kubanga tebaamwaniriza. Abakyala abaali embuto nabo n’abatta ng’ababaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Menakemu n'azikiriza ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Menahemu n'azikiriza Ekibuga Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ebitundu ebikiriraanye okuviira ddala e Tiruza, kubanga tebaamuggulirawo. N'abakazi bonna abaali embuto abaakirimu n'ababaaga!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Menakemu n'akuba Tifusa ne bonna abaakirimu, n'ensalo zaakyo okuva e Tiruza: kubanga tebaamuggulirawo, kyeyava akikuba; abakazi bonna abaakirimu abaali embuto n'ababaaga.