2 Kings 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi yafuuka kabaka wa Yisirayeli; yafugira emyaka kkumi mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu mwenda ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, era n’afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'asatu mu omwenda (39) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Menakemu mutabani wa Gaadi n'atandika okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omwenda nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Menahemu mutabani wa Gaadi, n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka kkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Menakemu mutabani wa Gaadi n'atanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka kkumi mu Samaliya.