2 Kings 15:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama; ebbanga lyonna lye yafugira teyava mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakola ebibi mu maaso ga Mukama, era ebbanga lyonna we yabeerera kabaka, n’atakyuka kuleka bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebibi mu maaso ga Mukama ennaku ze zonna: nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakola n'aleetera Isiraeri okwonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebibi n'anyiiza Mukama. Ennaku zonna ez'obulamu bwe, n'atalekaayo kukola bibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ebyaleetera Yisirayeli okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ennaku ze zonna nga tava mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: