2 Kings 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Pulu kabaka wa Assuri yazinda ensi; Menakemu n'awa Pulu talenta za ffeeza lukumi amuwe obuwagizi era amuyambe okumunywereza obwakabaka mu mikono gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Puli kabaka w’e Bwasuli n’alumba Isirayiri, naye Menakemu n’amusuubiza okumuwa ttani amakumi asatu mu nnya eza ffeeza ng’amusaba okumuwanirira n’okumunyweza ku ntebe ey’obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Puli kabaka w'e Bwasuli n'alumba ensi ya Isiraeri okugirwanyisa; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi (1,000), amuyambe okumunywereza mu bwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Puuli kabaka wa Assiriya, n'alumba Yisirayeli. Menahemu n'awa Puuli oyo talanta lukumi eza ffeeza, Puuli ayambe Menahemu okunyweza obuyinza bwe mu bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Puli kabaka w'e Bwasuli n'atabaala ensi; Menakemu n'awa Puli talanta za ffeeza lukumi, omukono gwe gubeerenga naye okunyweza obwakabaka mu mukono gwe.