2 Kings 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
We yafuukira kabaka nga wa myaka kkumi na mukaaga; yafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya, ng'asibuka mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina emyaka kkumi na mukaaga bwe yatandika okufuga, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Erinnya lya nnyina ye yali Yekoliya ow’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga (16) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga wa myaka kkumi na mukaaga, n'afugira mu Yerusaalemu emyaka ataano mu ebiri. Nnyina yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemi.