2 Kings 15:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Menakemu ssente yaziggya mu Yisirayeli; buli mugagga ng'awa sekeli za ffeeza amakumi ataano ziweebwe kabaka wa Assuri. Kabaka wa Assuri n'aseguukulukuka; teyasigala mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Menakemu n’asoloozanga ensimbi ku Bayisirayiri, buli musajja omugagga ng’awaayo gulaamu desimoolo mukaaga eza ffeeza, okuwa kabaka w’e Bwasuli. Awo kabaka w’e Bwasuli n’abaviira mu nsi yaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Menakemu n'asolooza effeeza mu Isiraeri okuva ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri ataano (50), n'aziwa Puli kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensimbi ezo ez'okuwa kabaka wa Assiriya, Menahemu n'azisolooza ku basajja bonna abagagga ab'omu Yisirayeli, buli musajja n'awa sekeli amakumi ataano eza ffeeza. Kabaka wa Assiriya n'addayo ewaabwe, n'atasigala mu nsi eyo eya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Menakemu n'asolooza effeeza ku Isiraeri ku basajja bonna abagagga, ku buli musajja ffeeza sekeri amakumi ataano, okuwa kabaka w'e Bwasuli. Awo kabaka w'e Bwasuli n'addayo n'atabeera eyo mu nsi.