2 Kings 15:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi ana ogwa Azariya kabaka wa Yuda, Pekakiya, mutabani wa Menakemu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi ataano ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'ataano (50) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda, Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi ataano nga Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Pekahiya mutabani wa Menahemu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi ataano ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Pekakiya mutabani wa Menakemu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afuga emyaka ebiri: