2 Kings 15:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Peka mutabani wa Remaliya, omu ku bagabe be ab'oku bigaali abakulu, yamwekobera. Yagenda n'abasajja amakumi ataano Abagileyaadi, n'amuttira mu Samariya mu munaala gw'olubiri lwa kabaka, n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku baserikale be abakulu nga mukulu wa kibinja erinnya lye Peka mutabani wa Lemaliya, ne yeekobaana n’abasajja abalala amakumi ataano Abagireyaadi ne battira Pekakiya wamu ne Alugobu, ne Aliye mu kigo eky’omu lubiri e Samaliya. Peka n’atta Pekakiya, n’alya obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peka mutabani wa Lemaliya, omuduumizi w'eggye lye nnakola olukwe n'abasajja ataano (50) abaava e Gireyaadi, n'amufumitira e Samaliya mu kigo ekigumu eky'okwekwekamu eky'omunda mu lubiri n'amutta wamu ne Alugobu ne Aliye. Peka n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuduumizi w'eggye lye ayitibwa Peka, mutabani wa Remaaliya, n'akola olukwe n'abasajja amakumi ataano abaava e Gileyaadi, n'amufumitira e Samariya mu kigo ekigumu eky'okwerindiramu ekyomunda mu lubiri, n'amutta, wamu ne Arugobu, ne Ariye. N'afuuka kabaka mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peka mutabani wa Lemaliya omwami we n'amwekobaana n'amufumitira mu Samaliya mu kigo eky'omu nnyumba ya kabaka wamu ne Alugobu ne Aliye; era abasajja amakumi ataano ab'oku Bagireyaadi ne baba wamu naye: n'amutta n'afuga mu kifo kye.