2 Kings 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri ogw'Azariya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Remaliya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Samariya; yafugira emyaka amakumi abiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi ataano mu ebiri ogw’obufuzi bwa Azaliya kabaka wa Yuda, Peka mutabani wa Lemaliya n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka amakumi abiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'ataano mu ebiri (52) ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atandika okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka abiri (20).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri nga Azariya, ye kabaka wa Buyudaaya, Peka mutabani wa Remaaliya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira mu Samariya emyaka amakumi abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi ataano mu ebiri ogwa Azaliya kabaka wa Yuda Peka mutabani wa Lemaliya n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka amakumi abiri.