2 Kings 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde bwa Peka kabaka wa Yisirayeli Tigulati-Pileeseri kabaka wa Assuri yalumba n'awamba Yiyoni, Abeli-Beti-Maaka, Yanowa, Kedesi, Kazori, Gileyaadi, Galilaaya yonna n'ensi ya Nafutali, abantu bonna n'abawaŋŋangusiza mu Assuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro bya Peka kabaka wa Isirayiri, Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga: by’e Iyoni, n’e Aberubesumaaka, n’e Yanoa, n’e Kedesi, n’e Kazoli, n’e Gireyaadi n’e Ggaliraaya, n’ensi yonna eya Nafutaali, abantu baayo n’abatwala nga basibe e Bwasuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri, Tigulasupireseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'awamba ebibuga Iyoni ne Aberubesumaaka, Yanowa, Kedesi ne Kazoli; n'ebitundu Gireyaadi, Ggaliraaya ne Nafutaali; n'atwala abantu nga basibe e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwa Peka, kabaka wa Yisirayeli, Tigulati Pileseri kabaka wa Assiriya, n'ajja n'awamba ebibuga Yijoni ne Abeli Beeti Maaka, ne Yanowa, ne Kedesi, ne Hazori, n'ebitundu by'e Gileyaadi, n'eby'e Galilaaya n'eby'e Nafutaali, abantu n'abatwala mu Assiriya nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mirembe gya Peka kabaka wa Isiraeri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli n'ajja n'amenya Iyoni ne Aberubesumka ne Yanowa Kedesi ne Kazoli ne Gireyaadi Ggaliraaya, ensi yonna eya Nafutali; n'abatwala nga basibe e Bwasuli