2 Kings 15:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ozeya mutabani wa Ela ne yeekobera Peka mutabani wa Remaliya; yamulumba, n'amutta n'amusikira ku bwakabaka mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Yotamu mutabani wa Wuzziya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Koseya mutabani wa Era n’asala olukwe okutta Peka mutabani wa Lemaliya, n’amulumba era n’amutta, n’alya obwakabaka mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obwakabaka bwa Yosamu mutabani wa Uzziya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwa abiri (20) ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya kabaka wa Yuda; Koseya mutabani wa Era nnakolera Peka mutabani wa Lemaliya olukwe, n'amufumita n'amutta, ye n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri nga Yotamu mutabani wa Azariya ye kabaka wa Buyudaaya, Hoseya mutabani wa Ela, n'akola olukwe, n'afumita Peka mutabani wa Remaaliya, n'amutta, n'afuuka kabaka mu kifo kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Koseya mutabani wa Era ne yeekobaana Peka mutabani wa Lamaliya, n'amufumita n'amutta n'afuga mu kifo kye mu mwaka ogw’amakumi abiri ogwa Yosamu mutabani wa Uzziya.