2 Kings 15:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu etaano. Yafugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Yerusa, muwala wa Zadoki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Yerusa muwala wa Zadooki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yali awezzeza emyaka abiri mu etaano (25) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadoki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga wa myaka amakumi abiri mu ettaano, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. Nnyina yali Yerusa, muwala wa Zaddooki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadooki.