2 Kings 15:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, abantu ne bongera okutambira n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu. Yotamu ye yazimba Omulyango ogwa Waggulu ogw'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo, era abantu ne beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangako obubaane. Yaddaabiriza n’Omulyango ogw’ekyengulu ogwa yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu ne beeyongera okuweerayo ssaddaaka n'okwotereza obubaane mu bifo ebyo. Yosamu n'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu tebyaggyibwawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro n'okwoterezanga obubaane mu bifo ebyo. Yotamu n'azimba omulyango ogw'ekyengulu ogw'Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu. N'azimba omulyango ogw'engulu ogw'omu nnyumba ya Mukama,