2 Kings 15:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Omukama yatandika okusindika mu Yuda Rezini kabaka wa Aramu ne Peka mutabani wa Remaliya okulwanyisa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Mukama n’atandika okusindikira Yuda abalabe nga Lezini kabaka w’e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Mukama mwe yatandikira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwa Yotamu, Mukama mwe yatandikira okusindika Rezini kabaka wa Siriya ne Peka kabaka wa Yisirayeli era mutabani wa Remaaliya, ne balumba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Mukama mwe yatanulira okusindika Lezini kabaka w'e Busuuli ne Peka mutabani wa Lemaliya okulwana ne Yuda.