2 Kings 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggyibwawo, abantu baasigala batambiririra n'okunyookeza obubaani mu bifo ebigulumivu
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula ebifo ebigulumivu gye baweeranga ssaddaaka tebyaggibwawo, era abantu beeyongeranga okuweerangayo ssaddaaka n’okwoterezangayo obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ebifo ebigulumivu bye baasinzizangamu teyabiggyaawo. Abantu ne bongera okuweerangayo ebitambiro, n'okunyookerezanga obubaane mu bifo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka era nga bootereza obubaane ku bifo ebigulumivu.