2 Kings 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yabonereza kabaka n'ekigenge ekyamusigalako okutuusa ku kufa; yasulanga mu nnyumba njawufu yekka. Yotamu mutabani wa kabaka ye yafuganga olubiri, era ye yalamulanga n'abantu b'omu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’aleetera kabaka obulwadde n’agengewala, ennaku ze zonna okutuusa bwe yafa, era n’aggyibwako emirimu egy’obuvunaanyizibwa n’ateekebwa mu nnyumba ey’enjawulo. Azaliya n’asigira Yosamu mutabani we okuvunaanyizibwanga ensonga zonna ez’omu lubiri, era n’afuganga n’abantu ab’omu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'alwaza kabaka ebigenge, n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, olw'ebigenge n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yosamu n'abeera mu lubiri nga yalamula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'alwaza Azariya ebigenge, n'aba mugenge okutuusa okufa. N'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka. Mutabani we Yotamu nga ya abeera mu lubiri, era nga ye afuga ensi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'alwaza kabaka n'okugengewala n'agengewala okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'asulanga mu nnyumba eyayawulwa. Era Yosamu mutabani wa kabaka ye yali saabakaaki ng'asalira abantu ab'omu nsi emisango.