2 Kings 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azariya n'agalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi; Yotamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Azaliya n’afa, n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi, Yosamu mutabani we n’amusikira okuba kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; era ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Azariya n'akisa omukono ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu Kibuga kya Dawudi, mutabani we Yotamu n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Azaliya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziikira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yosamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.